Verse I
Mpandiiseeyo kano ka letter
Kali mu lulimi Luganda
Mulimu obugambo obuwooma, eh eh
Nali nakwagala dda okuva edda
Ssagamba nga neetya
Kati ke nkufunye nze sirinda, babe
Love gye nina nasikira ya jajja
Nkakasa tolijula nedda
Mmanyi n’okuwoomya ebikaawa, yeah eh
Jangu nfuuke ssebo
Tugobe n’empewo
Love nkyalina natural
Nnyingi eri ku ntobo
Kwegamba wawonye abo ba Tito
Abatona bi kkedo
Weepimire eno oli ku ddipo
Gira twala muntu wo
Chorus
Mukwano omwenyanga olumya
Wawonye essunsa ne bu katunkuma
Abalala mukkirire ffe twambuka
Mmwe musaakaanye ffe tuwoomesa ddiba
Nze ssiri obwo bu mmwanyizaabala
Wawonye essunsa ne bu katunkuma
Te-te-temunenya nze ne bwe nanaagira
Mmwe musaakaanye ffe tuwoomesa ddiba
Verse II
Najja n’omuliro gwali gwaka
N’ongobesa ebisweta
Naye ne ŋŋuma nti kiriba edda, yeah eh
Abaali bakugamba mbu ndi Casanova
Yali propaganda
Byonna bye baakugamba byali bya bulimba, yeah eh
Nawonye obuwala obutunula ng’obwafa
Butokota nga generator!
Buzungazunga nnyo ku basawo Abaganda, ooh oh
Tirikubona nti oli mukaire
Ppaka ng’onzinze mu mugaire
Ndija kuwanga omudenene
Onsiikirenga ku mpengere
Oyenda kunwa ki omusongole?
Saba ky’oyenda nkuleetere
Bale babone bali ku bi ffene
Gula n’ekereta mbabongole
Chorus
Mukwano omwenyanga olumya
Wawonye essunsa ne bu katunkuma
Abalala mukkirire ffe twambuka
Mmwe musaakaanye ffe tuwoomesa ddiba
Nze ssiri obwo bu mmwanyizaabala
Wawonye essunsa ne bu katunkuma
Te-te-temunenya nze ne bwe nanaagira
Mmwe musaakaanye ffe tuwoomesa ddiba
Verse III
Ono ssaamusanga ku kkubo
Kyova olaba nga wa nkizo
N’abaali bamwagala njolo
Nze bwe najja ne beekuba endobo
Laba yenna taliiko na nziro
Tebaamufuuyisa mpewo
Nŋamba kyotalina nze muntu wo
Ssisiba nkwata bukwasi mu nsawo
Nze nina okusuutanga
Nteekemu akajanjanja
Abaali baduma nabakuba engwala
Badduka na kiwalazima njabala
Nfunye omuntu wange
Chorus
Mukwano omwenyanga olumya
Wawonye essunsa ne bu katunkuma
Abalala mukkirire ffe twambuka
Mmwe musaakaanye ffe tuwoomesa ddiba
Nze ssiri obwo bu mmwanyizaabala
Wawonye essunsa ne bu katunkuma
Te-te-temunenya nze ne bwe nanaagira
Mmwe musaakaanye ffe tuwoomesa ddiba