Njalwala - AaronX Lyrics Oh ooh Eh yeah Mpitibwa kasajja lwazi naye bw’ojja ŋŋonda Nze ŋŋonderera ng’eryenvu Alikunkyaya gundi aliba wa ttima Era sirimusonyiwa oyo Okuva lwe walungiwa otyo ensi yange ndala Gwe wagikwakkulako oluuyi Nze ndi muntu wa mirembe nnyo naye ekisajjula embeera kwekukubulwa nti, eh Nakuggyirako akakoofiira ah Bwe nkulowooza ogamba siikeese eh! Nkusaba ojjukirenga nnyo luli olunaku lwaffe lwe twasisinkana Gwe nakuggyirako eno seppeewo ooh Bwe nkulowooza ogamba siikeese eh! Nkusaba ojjukirenga nnyo luli olunaku lwaffe lwe twasisinkana, yeah
Yeah eeh, eeeh… Bw’ovaawo nja lwala Yeah eeh, eeeh… Bw’ovaawo nja lwala Bw’ovaawo nja lwala Olinkyawako bbuba Kuba buli w’onaalaga nina okulondoola Olinvuma butakkuta Kuba ku bulungi bwo baby nina okuwuukuuka Ndikwagala buteddiza Tubeerezeemu ppaka embugubugu okugwa I wanna tell you how I feel inside But I feel what I feel is not enough I wanna give you the entire world But I know, the world is never mine Oooh Eeeh Nakuggyirako akakoofiira ah Bwe nkulowooza ogamba siikeese eh! Nkusaba ojjukirenga nnyo luli olunaku lwaffe lwe twasisinkana Gwe nakuggyirako eno seppeewo oh Bwe nkulowooza ogamba siikeese eh! Nkusaba ojjukirenga nnyo luli olunaku lwaffe lwe twasisinkana, yeah
Kale nno bwotyo nze onjogeza ennimi
Simanyi lw’olindeka oti nze ndyebikka ndigi
Ekyo kiriba kirwadde kirindeka ku ndiri
Nkuwema butungo mwanattu bw’oleka
Ssi ku buwoomi bw’omukwano obwo
Era alikweŋŋanga alimanya oluba
Kw’olwo alimanya akanfaamu eeh
Yeah eeh, eeeh
Bw’ovaawo nja lwala
Yeah eeh, eeeh
Bw’ovaawo nja lwala
Bw’ovaawo nja lwala