Song Title: Biluma
Artist: Harrison Fire
Lyrics:
Obulamu tebunyuma
Kumulimu ngendayo, Lwa
boss tangoba
Laba nzena napeeluka,
Nebizigo byanemwa
nakosama..
Wentuuka ewaka,
Ebilowoozo bidukilawo nenetamwa..
Ngengako okwegumya,
Naye olusulwo
lwalemelayo eno jensula..
Buli wentula mu
kasonda
Nkubya bufananyi
obulili wewatula nga
Mumutwe gwange byagana
okufadinga..
Banga ddene naye
nganye healinga..
Kinuma nyo bwendowooza
Nti obuzanyo bwaffe
bwetwali twasettinga..
Wasomesa oyo muzanya
mu smilinga..
Kilabika negulu
libawagila..
Ddala Lwaki nakusanga?
(Why)
Lwaki olemede kumutwe
gwange nga wankyawa?
Lwaki omwenya nga
Simwenya,
Wandekela bulumi ntobe
nzeka...
Biluma, biluma, Ooh
Biluma
Omutima eno guluma, guluma,
ooh Guluma...
Biluma, Biluma ooh
biluma
Omutima eno Guluma,
Guluma ooh Guluma....
Nsiba eno mukiwubalo
Ng'eyo ewamwe everyday
lyafuuka gandalo...
Nali nkumanyi mubuli
nyingo
Kati Onjokesa kasana
nga ali kukatandalo....
Mukwano Nkyalogotana,
Oba kyejo..
N'abawala banemwa lwa
linyalyo elyo
Nsobya nendibayita,
nebankyawilawo
Libanyiza buli
wendyogelako..
Nemikwano jo
najikolomila, tejandabula,
Gyawagila
eyakuntwalako.
Tebangamba, yiiii
Nga ate bebali
bampaana aah
Ddala lwaki nakusanga,
(Why)...