Nkaaba mataba, Nsiba maliba, Temuba nsuusuuba
Nkuba lukoba, Nfumba mmamba, Nkomba ggumba
Nnyimba nnyimba, Nzimba nnyumba, Nsomba bbumba
Nsanga senga asinga ensonga asiga nsugga
Nnuma maluma, Ntema nnyama, Nkama mpologoma
Nkuuma nkima, Mpoloma nvuuma, Nsoma binyuma
Njoza mmeeza, Njogeza njogeza, Mpooza mpooza
Nsooza nswaza, Nsolooza ffeeza, Nkuza ki?
Kyonna kye ndiko tombuuza, Mic check
Already kyo kyeyogerera, Mic check
Microphone gye nkebera, Mic check
Nga ssinayimba ne ngiwewula, Mic check
Kye ndiko tombuuza, Mic check
Already kyo kyeyogerera, Mic check
Microphone gye nkebera, Mic check
Nga ssinayimba ne ngiwewula
Kuzuuka, nazuuka
Bwe nazuuka, nakooka
Bwe nakooka, nasukka
Bwe nasukka, ne banteeka
Bwe banteeka, ne mbalabuka
Kwe kulabuka, kwe kubadduka
Namasuka ppaka waka
Ntuuka, nsooka ssika ssuuka
Nseka nsaka cover, nzirya
Nga neekweka tebandaba
Bwe baaloba nabakuba
Nabasiba enkoba akaba
Kabe, kasinge bonna abaali beewaga okufa
Ewasinga nswagginga
Movinga mbouncinga
Mbonga na zi gang
Nnyimirira ssitagala
Njogera mpapirira
Nsumulula ssiwummula
Mbasomera sseekengera
Bamatira nkyatabbira
Mbaduumira mbataamira
Nsumagira bakyakola
Mic check (x4)
King Jemcee