Yeah yeah
Kano kako yeah
Hmmm
Nakulaba mu leesu
Ne nfuuwa n’akaleetu
Nalayira mu lwatu
Said I will always love you
Tuli biwanvu
Nebwebuliba bwavu
Gulibimba nga byovu
Gutukule nga kkanzu
Ndiba wuwo nga pin
Mu katuli k’okutu kwo
Teri alikunzigyako
Mpozzi nga kusalawo kwo
Ng’oyagala kugenda n’abo
Yeah yeah
Omwoyo gusula wuwo
Nze nakubalirako baby nakwesiga
Mu matumbi g’ekiro
Manya ne mu birooto gwe waneddiza
Leka nkuyimbireko
Kankuyimbireko
Kano akayimba kako
Kako, kako
Tebulikya nga nkusuddewo
Yenze alibeerawo
Ka Nile Prince kako
Kako, kako
Njagala nkuwuute nga ssupu w’akatiko akabaala
Ebigambo kabifuuke enkuba ndiba umbrella
Sirikuleka mu butangalala
Ku nsonga z’omutima gwo nsaba ompe tender
Ogwange wagubikkula nga opener
Gwe laba bwe wayingira ate n’osiba
Njagala kukwagala nga wa kika
Tewali kiritwawula ekyo kye nsiba
Mazima kiribeera kitya aah
Nga nnyumye mu kakooti
Nkuswamidde mu kidaala aah, yeah
Ab’ennugu balitunula batya aah
Ng’olayira mu lwatu nti kufa kwekulitwawula
That we go be forever and ever
Leka nkuyimbireko
Kankuyimbireko
Kano akayimba kako
Kako, kako
Tebulikya nga nkusuddewo
Yenze alibeerawo
Ka Nile Prince kako
Kako, kako
Nakulaba mu leesu
Ne nfuuwa n’akaleetu
Nalayira mu lwatu
Said I will always love you
Tuli biwanvu
Nebwebuliba bwavu
Gulibimba nga byovu
Gutukule nga kkanzu
Natona laavu ne ntuuka
Nga njagala kugoba
Na buli yali yefuula anjagala
Waleeta laavu ne nkyuka
Olimu bye nali nnoonya eyiyo y’entuuka
A Ji…, A Ji…
A Jinja bwoy
Nile Prince yeah yeah
Hmmm