Waliwo nno abemasagga n’ebigambo
Mbu zino ennyimba azisengeka mulala nnyo
Bagenda batawaana babalimba
Bwe bammanyi ne gye nava e Bukunja
Bapaala balalanga n’olutinko
Ne gwe baanyumizaako naye akugamba
Nti oyo n’ewa kitaawe nayo manyiyo
Musango ki bw’omanya omusajja taata wa Kafeero
Beerippanya bazunga ng’omusujja
Ng’era eby’okola be byalemye okuzuula
Batambula baseesa n’obufumbo
Nga ba mbega be baatumye okuketta
Baswakira ne bataama n’okutaama
Ng’abayungule abategeka olulumba
Beererejja ne bakka n’olutuuyo
Bwe bammanyi obuwonvu ne mu bugga
Baggwa ensonyi ne bagaana n’okuswala
Oli n’ajweteka ekimwanguyira ogamba
Ba kaggwensonyi be bandeese akapaalo
Abantu abo abannyinze omanyiira
Aah leka nkulindemu omale okuweera
Nga n’owekirawuli ogira otabaaza
Abamanyiizi be banzuukusa akabanzi
Nazze lwana, naye kansooke kuyomba
Abamanyiizi be banzuukusa akabanzi
Nazze lwana, naye kansooke oyomba
Nze emisango emiroope nali ndoowoza
Nti gye giri egituusa n’abakessi
Guuguno gwa mannya ge twakoze natidde
Gwasinzeeko ku buzzi bw’emisango
Bwemutyo bwe mwamanyiira ne Katonda
Ne mudda ku mwana we okusamba
Nga mwerimbiikiriza mweriraanya
Obwakabona mu Yekaalu z’enzikiriza
Oli agambye nti Katonda y’anzaala
Gwe n’owakana n’otuuka n’okulwana
Beejaga ne bakyusa n’ebigambo
Nze kye mpise ekikoola n’akiyita ekyambe
Nga beesipiina benyumyako enjuuyi zombi
Ez’obuganzi n’ezobukyayi
Lumu ndi mu takisi etambula tuteredde
Bataddeko awo ennyimba za Kafeero
Kano ka Lucia kawala ka kinyoozi
Ne kamwetuka bwe kenyumya mu bantu
Mbu kale oyo yali ansabye obufumbo
Ne ŋaana natya siri ku mbeera z’abadongo
Naye nga bw’otunuulira agaana Kafeero!
Ova mu takisi ne weegoga bye walidde
Nga konna kambadde ng’akava okuziika
Mu lu max olukuusi lw’ekijwenge
Ne bu ssapatu obubunye akafuufu
Aah wekataalutuuka Mungu y’amanyiiwo
Wewuunye nga ne gwe koogerako tekamumanyi
Cokocoko eri yanjuza okulwana
Bamanyiizi be banzuukusa akabanzi
Era nazze lwana, naye kansooke oyomba
Mulirya obutwa ne mubulojja okuwooma
Nga mugenda mulyalya eby’omanyiira
Beerumaaluma muligaaya n’ebikweno
Mmwe muzunze obusamammo bw’emimwa he!
Baluma emba ne basiiya n’okusiiya
Nga beejaga obumanyi mu nsi z’abadongo
Batwesokoolera beerunga beenogaanya
Ng’abasimbemu akajiiko k’olutabula
Kati buno bu Lucia buwala bwa ba kinyoozi
Lwaki bunzunzizaako emyewowojjo?
Bwonna butunula nga Katonda bwatafaako
Ng’obwafikka ku madda g’abatabaazi
Bwesesasesa babagamba zikamwa mu mbo?
Muzimwetule nga zaalema abatujju
Ate langi y’omumanyiizi gigenderere nnyo
Nze ngigeraageranya ku y’eddemeezi
Afuluma ewuwe nga wa kikuusikuusi
N’ayingira ewuwo nga wa katakketakke
Kweggamba enfaanana y’oyo gw’azze omanyiira
Mmwe yerimbika olwo n’aseesa obutambi bw’omanyiira
Kati Lucia okwefaananyiriza abakwanwa
Yalaba nga bigwanamu Kafeero?
Nze abakazi tekibangako kizibu kyange
Ekizibu kyange abammanyi mukimanyi
Ne bwemba ŋanza nzungira mu bayimba
Sso ssi mmwe buwala bwa ba kinyoozi
Kwo okumanya abantu ssi gwe musango
Kuba ffenna bye tusula tukolerera
N’ekiwoomereze bwekityo bwekisooka
Naye bwe kisukkirira nkenku y’ekivaamu
Funa w’okoma buli omu mu kumanya munno
Kuba buli lw’oyitawo kafuuka kamanyiiro
Leero tuliko abayaaye emmanju w’ebikaali
Bali baavudde ku kye bayita omanyiira
Nti baluma emba ne basiiya n’okusiiya
Nga baswakidde bataamye n’okutaama
Nze mundeke mpitewo ŋende ndabe Kafeero
Oli bwe twasoma bazunza obumanyiiro
Bamanyiizi be banzuukusa akabanzi
Nazze lwana, naye kansooke oyomba
Omuntu bw’oyitiriza omuwa emirembe
Mwe bava omwo ne batutuuma embula bwoya
Bakusanga ofa okamuse n’akatuuyo
Badda ebbali nti kati oli ava minyira
Bakuba ssemikiti nnyini batumaala
Byetutaabasiiya ki mubitwetakulira?
Batulumba n’ewaka batutazaama
Batabaaza obusamammyo bw’omanyiira
Ne gy’okyadde bakonkona beeyigaanya
Batulondoola engeri etulinnya akabaati
Beerya enkuta bwe bagaya abagaza nva
Nga tebaazibagamba nti ziremwa lwokyo
Nti beerya enkuta bwe bageya abagaza nva
Nga tebaazibagamba nti zirema lwokyo
Mutuveeko ffe ssi mmwe mwatuleeta
Mulyoke mutugeraageranyenga okututabulanga
Oba Sarah Birungi asula mu kalina
Ekyo kivunaanya Kafeero osula mu lusiisira?
Nga Mulindwa Muwonge asula Nabyajwa
Ovunaane Mukaabya osula e Maganjo!
Nze n’emmere gye ndya bagituuma
Bagiyita kki bagagga beerumyanga
Muwogo n’ebijanjaalo ng’emmere yange
Musango mu bulamu nti namenya etteeka?
Ye bwoba wegombye muka Kafeero
Lwaki mu njogera zo osooka omanyira?
Bo abakazi baliwo kuganzibwanga
Gwe gamba oli nti mi nakupenda
Naye ate okusooka ovuma Kafeero
Okwo kuvuya ng’akologa muna mu bisejja
Ah bavudde eyo bapadde n’okupaala
Babiyingizaamu taata w’omudongo
Kasaakuluba gwe Lucia omanyiira
Okuneeteteggulirako mu takisi ezirejja
Okugaaya omubissi kunywa musaayi mu bantu?
Mulyoke munzinge amakoona g’ettamiiro
Tonkwatangako bwe ngwanga mu luguudo
Oba mmwe mugunnamuriza kkomawaniina
Nnyini bammaala nti ebuka ebisejja
Nga bwe simanyi gye ndaga abavaayo
Kati mukyala Lucia bwoba ommanyiiko
Funa w’okoma tolufuula lumanyiiro
Ye ki okka ku mitawaana ogitawaanya?
Omuntu atabanyega ki muntazaama?
Leero newankubadde tukwanakwana
Bannange Lucia mba nkulaza wa?
Kali okawasa okateeka mu nju
Enkoko n’embwa bisenguka ewaka
Kabi nnyo n’eŋaaŋa kaziyombya
Bwe kakutunuulira mu mata gagwa ebisejja
Omwo mwe kaakulira ng’akataagala omwo
Naye ndowooza era kaaziŋŋama kumanyiira
Nga mukandabiddeko eyo mukagamba
Ŋamba ka Bbingwa akaana ka kinyoozi
Tokiddangamu eky’okuntabaala
Lw’olikiddamu olifa onnyumyako
Nti ŋamba ka Bbingwa akaana ka kinyoozi
Tokiddangamu eky’okuntabaala
Nga mukandabiddeko eyo mukagamba
Nti lw’olikiddamu olifa onnyumyako